Add parallel Print Page Options

11 (A)Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;
    alibakumaakuma bamulumbe.
12 (B)Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
    balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.

Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
    era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

13 (C)Kubanga abantu tebakyuse kudda
    wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.

Read full chapter