Add parallel Print Page Options

14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,
    Omwoyo wa Mukama yabawummuza.
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo
    okwekolera erinnya ery’ettendo.
15 (A)Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe,
    ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu.
Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa?
    Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.
16 (B)Ggwe Kitaffe,
    wadde nga Ibulayimu tatumanyi
    era nga Isirayiri tatutegeera,
Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe
    okuva edda n’edda lye linnya lyo.

Read full chapter