Add parallel Print Page Options

(A)Omubi aleke ekkubo lye,
    n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.
Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe
    kubanga anaamusonyiyira ddala.

(B)“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe
    era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,”
    bw’ayogera Mukama.
(C)“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,
    bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,
    n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.

Read full chapter