Add parallel Print Page Options

(A)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
    gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
    gwe nakola gwe natonda.”

Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa

(B)Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
    abalina amatu naye nga tebawulira.
(C)Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
    n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
    Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
    abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”

Read full chapter