Add parallel Print Page Options

(A)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
    n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
    ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
(B)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
    gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
    gwe nakola gwe natonda.”

Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa

(C)Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
    abalina amatu naye nga tebawulira.

Read full chapter