Add parallel Print Page Options

10 (A)“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
    “omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
    mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
    era teriba mulala alinzirira.
11 (B)Nze, Nze mwene, nze Mukama;
    okuggyako nze tewali Mulokozi.
12 (C)Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola;
    nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe.
Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter