Add parallel Print Page Options

Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka

43 (A)Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,
    ggwe Yakobo,
    eyakukola ggwe Isirayiri:
“Totya kubanga nkununudde,
    nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
(B)Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
    nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
    tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
    tegukwokyenga,
    ennimi z’omuliro tezirikwokya.
(C)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
    Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
    era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.

Read full chapter