Isaaya 35:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
era n’amatu ga bakiggala galigguka;
Isaaya 42:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Okuzibula amaaso g’abazibe,
okuta abasibe okuva mu makomera
n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
Isaaya 42:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
sirireka bantu bange.
Lukka 24:47
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
47 (A)Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 20:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 20:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.