Add parallel Print Page Options

28 (A)Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
    agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
    era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29 (B)Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
    alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.

Read full chapter