Add parallel Print Page Options

(A)Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
    eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
    abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
(B)abantu bulijjo
    abansomooza mu maaso gange gennyini
nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro
    ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
(C)abatuula mu malaalo
    ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,
abalya ennyama y’embizzi,
    era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
(D)Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,
    kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’
Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,
    omuliro ogwaka olunaku lwonna.

(E)“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.
    Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,
    nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
(F)olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
    era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
    ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”

Read full chapter