Add parallel Print Page Options

10 (A)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

11 (B)Mugende, mugende muveewo awo.
    Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu.
Mukifulumemu mubeere balongoofu
    mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12 (C)Naye temulivaamu nga mwanguyiriza
    so temuligenda nga mudduka;
kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo;
    Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.

Read full chapter