Add parallel Print Page Options

Olusozi lwa Mukama

(A)Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

(B)Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
    lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
    era amawanga gonna galilwolekera.

(C)Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
    tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
    era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
(D)Alisala enkaayana z’amawanga,
    aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
    n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
    so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya

(E)Ggwe ennyumba ya Yakobo,
    mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
(F)Wayabulira abantu bo
    ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
    n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
    era basizza kimu ne bannamawanga.
(G)Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
    n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
    era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
(H)Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
    basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
    engalo zaabwe gwe zeekolera.
(I)Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
    omuntu wa kussibwa wansi.
    Mukama, tobasonyiwa!

10 (J)Mugende mwekweke mu njazi,
    mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
    nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 (K)Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
    n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.

12 (L)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
    eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
    eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
    okwemanya n’okwewulira.
13 (M)Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,[a] emiwanvu emigulumivu,
    n’emivule gyonna egya Basani.
14 (N)Era n’ensozi zonna empanvu,
    n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 (O)Na buli mulongooti gwonna omuwanvu,
    na buli bbugwe gwe bakomese.
16 (P)Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
    n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 (Q)Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
    n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18     (R)N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.

19 (S)Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
    ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 (T)Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala
    bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,
be beekolera nga ba kusinzanga,
    ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 (U)Balidduka ne beekukuma mu mpuku
    ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi.

22 (V)Mulekeraawo okwesiga omuntu
    alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?

Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango

(W)Laba kaakano, Mukama,
    Mukama Katonda ow’Eggye,
aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda
    ekibeesiguza ne kwe banyweredde,
ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
    (X)Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira,
omulamuzi, ne nnabbi,
    n’omulaguzi, n’omukadde.
Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano,
    n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.

“Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe,
    n’abaana obwana balibafuga.”

(Y)Era abantu balijooga bannaabwe,
    buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we.
Abato baliyisa mu bakulu amaaso
    n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.

Ekiseera kirituuka
    omusajja agambe muganda we nti,
“Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe,
    n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
(Z)Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti,
    “Si nze n’aba ow’okubawonya,
mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo.
    Temumpa kukulembera bantu!”

(AA)Kubanga Yerusaalemi kizikiridde
    ne Yuda agudde!
Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda,
    bityoboola ekitiibwa kye.
(AB)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
    era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[b]
    awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
    Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.

10 (AC)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
    kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (AD)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.

12 (AE)Abantu bange banyigirizibwa abaana abato,
    abakazi kaakano be babafuga.
Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe
    era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.

13 (AF)Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga,
    ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 (AG)Mukama Katonda asala omusango
    gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be.
“Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu.
    Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 (AH)Lwaki mulinnyirira abantu bange,
    lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

16 (AI)Mukama Katonda agamba nti,
    “Abakazi b’omu Sayuuni[c] beemanyi,
era batambula balalambazza ensingo
    nga batunuza bukaba.
Batambula basiira
    nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17 Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni,
    ne gifuuka gya biwalaata.”

18 (AJ)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (AK)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.

24 (AL)Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,
    awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,
n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,
    mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,
    n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25 (AM)Abasajja bo balittibwa kitala,
    abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26 (AN)N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga
    era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.

Footnotes

  1. 2:13 Lebanooni kitundu ekiri mu buvanjuba bwa Yoludaani, ekimanyiddwa olw’emivule gyayo n’ente ennyingi
  2. 3:9 Sodomu ky’ekibuga ekiriraanye ekifo Lutti gye yassa eweema ye, bwe yali ayawukanye ne Ibulaamu, oluvannyuma eyayitibwa Ibulayimu. Mukama yasaanyaawo Sodomu ne Gomora n’omuliro ogwa salufa ogwava mu ggulu kubanga abatuuze baayo baayonoona nnyo eri Mukama (Lub 13:12)
  3. 3:16 Sayuuni lusozi olusangibwa mu Yerusaalemi