Genesis 6
Christian Standard Bible
Sons of God and Daughters of Mankind
6 When mankind began to multiply on the earth and daughters were born to them, 2 the sons of God(A) saw that the daughters of mankind were beautiful, and they took any they chose as wives for themselves.(B) 3 And the Lord said, “My Spirit will not remain[a] with[b] mankind forever,(C) because they are corrupt.[c](D) Their days will be 120 years.” 4 The Nephilim[d] were on the earth both in those days and afterward, when the sons of God came to the daughters of mankind, who bore children to them. They were the powerful men of old, the famous men.
Judgment Decreed
5 When the Lord saw that human wickedness was widespread on the earth and that every inclination of the human mind was nothing but evil all the time,(E) 6 the Lord regretted that he had made man on the earth,(F) and he was deeply grieved. 7 Then the Lord said, “I will wipe mankind, whom I created, off the face of the earth, together with the animals, creatures that crawl, and birds of the sky—for I regret that I made them.” 8 Noah, however, found favor with the Lord.(G)
God Warns Noah
9 These are the family records(H) of Noah. Noah was a righteous man,(I) blameless among his contemporaries;(J) Noah walked with God.(K) 10 And Noah fathered three sons: Shem, Ham, and Japheth.
11 Now the earth was corrupt in God’s sight, and the earth was filled with wickedness.[e] 12 God saw how corrupt the earth was, for every creature had corrupted its way on the earth.(L) 13 Then God said to Noah, “I have decided to put an end to every creature, for the earth is filled with wickedness because of them; therefore I am going to destroy them along with the earth.
14 “Make yourself an ark of gopher[f] wood. Make rooms in the ark, and cover it with pitch inside and outside. 15 This is how you are to make it: The ark will be 450 feet long, 75 feet wide, and 45 feet high.[g] 16 You are to make a roof,[h] finishing the sides of the ark to within eighteen inches[i] of the roof. You are to put a door in the side of the ark. Make it with lower, middle, and upper decks.
17 “Understand that I am bringing a flood—floodwaters on the earth(M) to destroy every creature under heaven with the breath of life in it. Everything on earth will perish. 18 But I will establish my covenant with you,(N) and you will enter the ark with your sons, your wife, and your sons’ wives. 19 You are also to bring into the ark two of all the living creatures, male and female, to keep them alive with you. 20 Two of everything—from the birds according to their kinds, from the livestock according to their kinds, and from the animals that crawl on the ground according to their kinds—will come to you so that you can keep them alive. 21 Take with you every kind of food that is eaten; gather it as food for you and for them.” 22 And Noah did this. He did everything that God had commanded him.(O)
Footnotes
- 6:3 Or strive
- 6:3 Or in
- 6:3 Lit flesh
- 6:4 Possibly means “fallen ones”; traditionally, “giants”; Nm 13:31–33
- 6:11 Or injustice, also in v. 13
- 6:14 Unknown species of tree; perhaps pine or cypress
- 6:15 Or 300 cubits long, 50 cubits wide, and 30 cubits high
- 6:16 Or window, or hatch; Hb uncertain
- 6:16 Lit to a cubit
Olubereberye 6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amataba
6 (A)Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala. 2 Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera. 3 (B)Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
4 (C)Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.
Katonda asalira abantu omusango
5 (D)Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna. 6 (E)Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe. 7 Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.” 8 (F)Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
Ekiragiro ky’okuzimba Eryato
9 (G)Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye:
Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda. 10 (H)Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.
11 (I)Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde eddalu. 12 (J)Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu. 13 (K)Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi. 14 (L)Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu. 15 Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 16 Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu. 17 (M)Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa. 18 (N)Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe. 19 Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe. 20 (O)Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gy’oli, bibeere biramu. 21 Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”
22 (P)Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.
The Christian Standard Bible. Copyright © 2017 by Holman Bible Publishers. Used by permission. Christian Standard Bible®, and CSB® are federally registered trademarks of Holman Bible Publishers, all rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.