50 Then Joseph (A)fell on his father's face and wept over him and kissed him. And Joseph commanded his servants the physicians to (B)embalm his father. So the physicians embalmed Israel. Forty days were required for it, for that is how many are required for embalming. And the Egyptians (C)wept for him seventy days.

And when the days of weeping for him were past, Joseph spoke to the household of Pharaoh, saying, (D)“If now I have found favor in your eyes, please speak in the ears of Pharaoh, saying, ‘My father made me swear, saying, “I am about to die: in my tomb (E)that I hewed out for myself in the land of Canaan, there shall you bury me.” Now therefore, let me please go up and bury my father. Then I will return.’” And Pharaoh answered, “Go up, and bury your father, as he made you swear.” So Joseph went up to bury his father. With him went up all the servants of Pharaoh, the elders of his household, and all the elders of the land of Egypt, as well as all the household of Joseph, his brothers, and his father's household. Only their children, their flocks, and their herds were left (F)in the land of Goshen. And there went up with him both chariots and horsemen. It was a very great company. 10 When they came to the threshing floor of Atad, which is beyond the Jordan, (G)they lamented there with a very great and grievous lamentation, and he (H)made a mourning for his father seven days. 11 When the inhabitants of the land, the Canaanites, saw the mourning on the threshing floor of Atad, they said, “This is a grievous mourning by the Egyptians.” Therefore the place was named Abel-mizraim;[a] it is beyond the Jordan. 12 Thus his sons did for him as he had commanded them, 13 for (I)his sons carried him to the land of Canaan and buried him in the cave of the field at Machpelah, to the east of Mamre, which Abraham (J)bought with the field from Ephron the Hittite to possess as a burying place. 14 After he had buried his father, Joseph returned to Egypt with his brothers and all who had gone up with him to bury his father.

God's Good Purposes

15 When Joseph's brothers saw that their father was dead, they said, “It may be that Joseph will hate us and pay us back for all the evil that we did to him.” 16 So they sent a message to Joseph, saying, “Your father gave this command before he died: 17 ‘Say to Joseph, “Please forgive the transgression of your brothers and their sin, because they did evil to you.”’ And now, please forgive the transgression of the servants of (K)the God of your father.” Joseph wept when they spoke to him. 18 His brothers also came and (L)fell down before him and said, “Behold, we are your servants.” 19 But Joseph said to them, “Do not fear, for (M)am I in the place of God? 20 As for you, you meant evil against me, but (N)God meant it for good, to bring it about that many people[b] should be kept alive, as they are today. 21 So do not fear; (O)I will provide for you and your little ones.” Thus he comforted them and spoke kindly to them.

The Death of Joseph

22 So Joseph remained in Egypt, he and his father's house. Joseph lived 110 years. 23 And Joseph saw Ephraim's children (P)of the third generation. The (Q)children also of Machir the son of Manasseh were (R)counted as Joseph's own.[c] 24 And Joseph said to his brothers, “I am about to die, but (S)God will visit you and bring you up out of this land to the land (T)that he swore to Abraham, to Isaac, and to Jacob.” 25 Then (U)Joseph made the sons of Israel swear, saying, “God will surely visit you, and you shall carry up my bones from here.” 26 So Joseph died, being 110 years old. They (V)embalmed him, and he was put in a coffin in Egypt.

Footnotes

  1. Genesis 50:11 Abel-mizraim means mourning (or meadow) of Egypt
  2. Genesis 50:20 Or a numerous people
  3. Genesis 50:23 Hebrew were born on Joseph's knees

50 (A)Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera. (B)Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri; (C)baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.

Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti, (D)‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”

Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”

Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna, n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.

10 (E)Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu. 11 Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.

12 Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13 (F)Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be. 14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.

15 (G)Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.” 16 Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti 17 tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.

18 (H)Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.” 19 (I)Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda? 20 (J)Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa. 21 (K)Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.

Okufa kwa Yusufu

22 (L)Awo Yusufu n’abeera mu Misiri, ye n’ennyumba ya kitaawe. N’awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 23 (M)N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.

24 (N)Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.” 25 (O)Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”

26 (P)Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.