Add parallel Print Page Options

14 (A)Bakabona bwe bayingirangamu, tebaafulumenga kulaga mu luggya olw’ebweru, okuggyako nga baggyemu ebyambalo eby’obuweereza bwabwe, kubanga byambalo bitukuvu. Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ebifo awali abantu.”

15 (B)Bwe yamala okupima munda wa yeekaalu, n’ankulembera n’ampisa mu mulyango ogw’Ebuvanjuba, n’apima ekitundu ekyetoolodde wonna. 16 N’apima oluuyi olw’ebuvanjuba n’oluti olugera, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.

Read full chapter