Add parallel Print Page Options

(A)Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,
    naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,
    naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.

(B)Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,
    naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.

Read full chapter