Ekyamateeka Olwokubiri 24:1-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amateeka g’Ebyobufumbo
24 (A)Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, 2 omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa. 3 Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga; 4 (B)bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.
Read full chapter
Yeremiya 2:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala
20 (A)Mukama ow’eggye agamba nti,
“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
wakuba obwamalaaya
ng’ovuunamira bakatonda abalala.
Yeremiya 2:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Tokooya bigere byo,
era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
nteekwa okubanoonya.”
Ezeekyeri 16:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, n’oyongera ku bukaba bwo n’onsunguwaza.
Read full chapter
Ezeekyeri 16:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)N’oluvannyuma n’oyongerayo ebikolwa byo eby’obukaba mu Bakaludaaya, ensi ey’ebyamaguzi, naye era n’otamalibwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.