Ekyamateeka Olwokubiri 10:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala.
Read full chapter
Zabbuli 22:27-31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Ensi zonna zirijjukira
ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
birimuvuunamira.
28 (B)Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
era y’afuga amawanga gonna.
29 (C)Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
abatakyali balamu.
30 (D)Ezadde lyabwe lirimuweereza;
abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31 (E)N’abo abatannazaalibwa
balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
“Ekyo yakikoze.”
Zabbuli 67:5-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
6 (A)Ensi erireeta amakungula gaayo;
era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7 (B)Katonda anaatuwanga omukisa;
n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.