Add parallel Print Page Options

(A)Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna by’anaabanga akoze n’azza omusango.”

Ebiweebwayo Ebyokebwa

Mukama n’agamba Musa nti, “Lagira Alooni ne batabani be nti: Lino lye tteeka ery’ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa enkeera, era omuliro gw’omu kyoto gunaabanga gwaka ebbanga lyonna.

Read full chapter