Add parallel Print Page Options

(A)oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango. (B)Era anaaleeteranga kabona ekiweebwayo eri Mukama olw’omusango, nga kya ndiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ogibaliriddemu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. (C)Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna by’anaabanga akoze n’azza omusango.”

Read full chapter