Ebyabaleevi 25:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri[a] gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye.
Read full chapterFootnotes
- 25:10 Jjubiri kitegeeza buwanguzi
Isaaya 61:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amawulire Amalungi ag’Obulokozi
61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
n’abasibe bateebwe
bave mu makomera.
Isaaya 61:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Okulangirira omwaka gwa Mukama
ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.