Ebyabaleevi 19:36
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 (A)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 25:13-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. 14 Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. 15 (B)Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa. 16 (C)Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.
Read full chapter
Engero 20:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
byombi bya muzizo eri Mukama.
Engero 20:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.
Engero 16:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,
ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.