Danyeri 5:16-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”
17 (A)Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.
18 (B)“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka;
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.