Add parallel Print Page Options

25 (A)Ne mu Koseya agamba nti,

“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,
    Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”

26 (B)Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti,

“Temuli bantu bange,
    mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”

27 (C)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
    ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.

Read full chapter