Add parallel Print Page Options

16 (A)Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. 17 (B)Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. 18 (C)Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.

Read full chapter