2 Ebyomumirembe 20:20-30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.” 21 (B)Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,
“Mwebaze Mukama
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
22 (C)Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa. 23 (D)Abasajja ba Amoni n’aba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja ab’oku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana.
24 Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw’eddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo n’omu eyawonyeewo. 25 Yekosafaati n’abantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi n’engoye nnyingi, n’eby’obugagga bingi, okusinga n’ebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olw’obungi bwabyo. 26 Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero.
27 Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda n’owa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olw’okuwangula abalabe baabwe. 28 Ne bayingira Yerusaalemi, ne bagenda mu yeekaalu ya Mukama nga bakutte entongooli, n’ennanga, n’amakondeere.
29 (E)Entiisa ya Mukama n’ejja ku bwakabaka bwonna obw’omu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana n’abalabe ba Isirayiri[a]. 30 (F)Era obwakabaka bwa Yekosafaati ne buba n’emirembe, kubanga Katonda we yamuwa emirembe enjuuyi zonna.
Read full chapterFootnotes
- 20:29 Isirayiri, ssoma Yuda, kubanga Yekosafaati yafuganga Yuda
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.