2 Samwiri 23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero
23 (A)Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:
ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:
2 (B)“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
3 (C)Katonda wa Isirayiri yayogera,
olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
n’afugira mu kutya Katonda,
4 (D)ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
5 (E)Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
6 (F)Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
kizibu okugakwata n’engalo.
7 Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
oba olunyago lw’effumu,
era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”
Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi
8 Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.
9 (G)Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.
11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.
13 (H)Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 (I)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 (J)Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 (K)Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.
Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.
18 (L)Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.
20 (M)Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.
24 (N)Mu makumi asatu mwe mwali:
Asakeri muganda wa Yowaabu,
Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
25 (O)Samma Omukalodi,
Erika Omukalodi,
26 (P)Kerezi Omupaluti,
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
27 (Q)Abiyezeeri Omwanasosi,
Mebunnayi Omukusasi,
28 (R)Zalumoni Omwakowa,
Makalayi Omunetofa,
29 (S)Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,
Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,
30 (T)Benaya Omupirasoni,
Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,
31 (U)Abi-Aluboni Omwalubasi,
ne Azumavesi Omubalukumi,
32 ne Eriyaba Omusaaluboni,
batabani ba Yaseni, Yonasaani,
33 ne Samma Omukalali,
Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,
34 (V)Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,
Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,
35 (W)Kezulo Omukalumeeri,
Paalayi Omwalubi,
36 (X)Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,
Bani Omugaadi,
37 Zereki Omwamoni,
Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
38 (Y)Ira Omuyisuli,
Galebu Omuyisuli,
39 (Z)ne Uliya Omukiiti.
Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.
2 Samuele 23
Conferenza Episcopale Italiana
Ultime parole di Davide
23 Queste sono le ultime parole di Davide:
«Oracolo di Davide, figlio di Iesse,
oracolo dell'uomo che l'Altissimo ha innalzato,
del consacrato del Dio di Giacobbe,
del soave cantore d'Israele.
2 Lo spirito del Signore parla in me,
la sua parola è sulla mia lingua;
3 il Dio di Giacobbe ha parlato,
la rupe d'Israele mi ha detto:
Chi governa gli uomini ed è giusto,
chi governa con timore di Dio,
4 è come la luce del mattino
al sorgere del sole,
in un mattino senza nubi,
che fa scintillare dopo la pioggia
i germogli della terra.
5 Così è stabile la mia casa davanti a Dio,
perché ha stabilito con me un'alleanza eterna,
in tutto regolata e garantita.
Non farà dunque germogliare
quanto mi salva
e quanto mi diletta?
6 Ma gli scellerati sono come spine,
che si buttano via a fasci
e non si prendono con la mano;
7 chi le tocca usa un ferro o un'asta di lancia
e si bruciano al completo nel fuoco».
I prodi di Davide
8 Questi sono i nomi dei prodi di Davide: Is-Bàal il Cacmonita, capo dei Tre. Egli impugnò la lancia contro ottocento uomini e li trafisse in un solo scontro. 9 Dopo di lui veniva Eleàzaro figlio di Dodò l'Acochita, uno dei tre prodi che erano con Davide, quando sfidarono i Filistei schierati in battaglia, mentre gli Israeliti si ritiravano sulle alture. 10 Egli si alzò, percosse i Filistei, finché la sua mano, sfinita, rimase attaccata alla spada. Il Signore concesse in quel giorno una grande vittoria e il popolo seguì Eleàzaro soltanto per spogliare i cadaveri. 11 Dopo di lui veniva Sammà figlio di Aghè, l'Ararita. I Filistei erano radunati a Lechì; in quel luogo vi era un campo pieno di lenticchie: mentre il popolo fuggiva dinanzi ai Filistei, 12 Sammà si piantò in mezzo al campo, lo difese e sconfisse i Filistei. E il Signore concesse una grande vittoria.
13 Tre dei Trenta scesero al tempo della mietitura e vennero da Davide nella caverna di Adullàm, mentre una schiera di Filistei era accampata nella valle dei Rèfaim. 14 Davide era allora nella fortezza e c'era un appostamento di Filistei a Betlemme. 15 Davide espresse un desiderio e disse: «Se qualcuno mi desse da bere l'acqua del pozzo che è vicino alla porta di Betlemme!». 16 I tre prodi si aprirono un varco attraverso il campo filisteo, attinsero l'acqua dal pozzo di Betlemme, vicino alla porta, la presero e la presentarono a Davide; il quale però non ne volle bere, ma la sparse davanti al Signore, 17 dicendo: «Lungi da me, Signore, il fare tal cosa! E' il sangue di questi uomini, che sono andati là a rischio della loro vita!». Non la volle bere. Questo fecero quei tre prodi.
18 Abisài, fratello di Ioab, figlio di Zeruià, fu il capo dei Trenta. Egli impugnò la lancia contro trecento uomini e li trafisse; si acquistò fama fra i trenta. 19 Fu il più glorioso dei Trenta e perciò fu fatto loro capo, ma non giunse alla pari dei Tre. 20 Poi veniva Benaià, figlio di Ioiadà, uomo valoroso, celebre per le sue prodezze, oriundo da Cabseèl. Egli uccise i due figli di Arièl, di Moab. Scese anche in mezzo a una cisterna, dove uccise un leone, in un giorno di neve. 21 Uccise anche un Egiziano, uomo d'alta statura, che teneva una lancia in mano; Benaià gli scese contro con un bastone, strappò di mano all'Egiziano la lancia e lo uccise con la lancia di lui. 22 Questo fece Benaià figlio di Ioiadà, e si acquistò fama tra i trenta prodi. 23 Fu il più illustre dei Trenta, ma non giunse alla pari dei Tre. Davide lo ammise nel suo consiglio. 24 Poi vi erano Asaèl fratello di Ioab, uno dei Trenta; Elcanàn figlio di Dodò, di Betlemme. 25 Sammà di Caròd; Elikà di Caròd; 26 Cèles di Pelèt; Ira figlio di Ikkès, di Tekòa; 27 Abièzer di Anatot; Mebunnài di Cusà; 28 Zalmòn di Acòach; Maharai di Netofà; 29 Chèleb figlio di Baanà, di Netofà; Ittài figlio di Ribài, di Gàbaa di Beniamino; Benaià di Piratòn; 30 Iddài di Nahale-Gaàs; 31 Abi-Albòn di Arbàt; Azmàvet di Bacurìm; 32 Eliacbà di Saalbòn; Iasèn di Gun; 33 Giònata figlio di Sammà, di Aràr; Achiàm figlio di Saràr, di Afàr; 34 Elifèlet figlio di Acasbài, il Maacatita; Eliàm figlio di Achitòfel, di Ghilo; 35 Chesrài del Carmelo; Paarài di Aràb; 36 Igàl figlio di Natàn, da Zobà; Banì di Gad; 37 Zèlek l'Ammonita; Nacrai da Beeròt, scudiero di Ioab, figlio di Zeruià; 38 Irà di Ièter; Garèb di Ièter; 39 Uria l'Hittita. In tutto trentasette.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.