2 Samwiri 15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obujeemu bwa Abusaalomu
15 (A)Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu. 2 (B)Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,” 3 (C)Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.” 4 (D)Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”
5 Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa. 6 (E)Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri.
7 Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri Mukama. 8 (F)Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’ ” 9 Kabaka n’amuddamu nti, “Ggenda mirembe.” N’asitula n’alaga e Kebbulooni.
10 (G)Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ” 11 Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo. 12 (H)Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi[a] Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.
13 Omubaka n’ajja n’ategeeza Dawudi nti, “Emitima gy’abantu ba Isirayiri gigoberedde Abusaalomu.”
14 (I)Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.” 15 Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka ky’anaaba asazeewo.”
16 (J)Awo Kabaka n’asitula n’ennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri. 17 Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo. 18 (K)Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, n’Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna, n’Abagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu.
19 (L)Awo kabaka n’agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe. 20 (M)Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno n’eri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo n’abantu bo. Ekisa n’emirembe bibeerenga naawe.”
21 (N)Naye Ittayi n’addamu kabaka nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, era mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, buli mukama wange kabaka gy’anaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.”
22 Dawudi n’agamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti n’abasajja be bonna n’abantu baabwe abaali naye ne bayitawo. 23 (O)Ab’omu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye n’asomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu.
24 (P)Zadooki awamu n’Abaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye n’ayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga.
25 (Q)Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo Mukama ky’abeeramu. 26 (R)Naye bw’alisalawo nti, ‘Ssiri musanyufu naawe,’ ndimweteefuteefu ankole nga bw’asiima.”
27 (S)Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe. 28 (T)Ndirindirira ekigambo ekiriva gye muli, we tulisomokera okulaga mu ddungu.” 29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo essanduuko ya Katonda e Yerusaalemi ne basigala eyo.
30 (U)Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere[b]. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba. 31 (V)Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”
32 (W)Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki[c] yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 33 (X)Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu. 34 (Y)Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu. 35 (Z)Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna ky’onoowulira mu lubiri. 36 (AA)Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”
37 (AB)Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n’atuuka e Yerusaalemi, nga Abusaalomu ayingira ekibuga.
2 Samuel 15
English Standard Version
Absalom's Conspiracy
15 After this Absalom (A)got himself a chariot and horses, and fifty men to run before him. 2 And Absalom used to rise early and stand beside (B)the way of the gate. And when any man had a dispute to come before the king for judgment, Absalom would call to him and say, “From what city are you?” And when he said, “Your servant is of such and such a tribe in Israel,” 3 Absalom would say to him, “See, your claims are good and right, but there is no man designated by the king to hear you.” 4 Then Absalom would say, (C)“Oh that I were judge in the land! Then every man with a dispute or cause might come to me, and I would give him justice.” 5 And whenever a man came near to pay homage to him, he would put out his hand and take hold of him and kiss him. 6 Thus Absalom did to all of Israel who came to the king for judgment. So Absalom stole the hearts of the men of Israel.
7 And at the end of four[a] years Absalom said to the king, “Please let me go and pay my vow, which I have vowed to the Lord, in Hebron. 8 For your servant (D)vowed a vow (E)while I lived at Geshur in Aram, saying, ‘If the Lord will indeed bring me back to Jerusalem, then I will offer worship to[b] the Lord.’” 9 The king said to him, (F)“Go in peace.” So he arose and went to Hebron. 10 But Absalom sent secret messengers throughout all the tribes of Israel, saying, “As soon as you hear the sound of the trumpet, then say, ‘Absalom is king at Hebron!’” 11 With Absalom went two hundred men from Jerusalem (G)who were invited guests, and they went in their innocence and knew nothing. 12 And while Absalom was offering the sacrifices, he sent for[c] (H)Ahithophel the Gilonite, (I)David's counselor, from his city (J)Giloh. And the conspiracy grew strong, and the people with Absalom (K)kept increasing.
David Flees Jerusalem
13 And a messenger came to David, saying, (L)“The hearts of the men of Israel have gone after Absalom.” 14 Then David said to all his servants who were with him at Jerusalem, “Arise, and let us (M)flee, or else there will be no escape for us from Absalom. Go quickly, lest he overtake us quickly and bring down ruin on us and strike the city with the edge of the sword.” 15 And the king's servants said to the king, “Behold, your servants are ready to do whatever my lord the king decides.” 16 So the king went out, and all his household after him. And the king left (N)ten concubines to keep the house. 17 And the king went out, and all the people after him. And they halted at the last house.
18 And (O)all his servants passed by him, and all the Cherethites, and all the Pelethites, and all the six hundred Gittites who had followed him from (P)Gath, passed on before the king. 19 Then the king said to (Q)Ittai the Gittite, “Why do you also go with us? Go back and stay with the king, for you are a foreigner and also an exile from your home. 20 You came only yesterday, and shall I today make you wander about with us, since I go (R)I know not where? Go back and take your brothers with you, and may the Lord show[d] steadfast love and faithfulness to you.” 21 But Ittai answered the king, (S)“As the Lord lives, and as my lord the king lives, (T)wherever my lord the king shall be, whether for death or for life, there also will your servant be.” 22 And David said to Ittai, “Go then, pass on.” So Ittai the Gittite passed on with all his men and all the little ones who were with him. 23 And all the land wept aloud as all the people passed by, and the king crossed (U)the brook (V)Kidron, and all the people passed on toward (W)the wilderness.
24 And (X)Abiathar came up, and behold, (Y)Zadok came also with all the Levites, (Z)bearing the ark of the covenant of God. And they set down the ark of God until the people had all passed out of the city. 25 Then the king said to Zadok, “Carry the ark of God back into the city. If I find favor in the eyes of the Lord, he will (AA)bring me back and let me see both it and his (AB)dwelling place. 26 But if he says, ‘I have no (AC)pleasure in you,’ behold, here I am, (AD)let him do to me what seems good to him.” 27 The king also said to Zadok the priest, “Are you not a (AE)seer? Go back[e] to the city in peace, with (AF)your two sons, Ahimaaz your son, and Jonathan the son of Abiathar. 28 See, I will wait at (AG)the fords of (AH)the wilderness until word comes from you to inform me.” 29 So Zadok and Abiathar carried the ark of God back to Jerusalem, and they remained there.
30 But David went up the ascent of the Mount of Olives, weeping as he went, (AI)barefoot and (AJ)with his head covered. And all the people who were with him covered their heads, and they went up, (AK)weeping as they went. 31 And it was told David, “Ahithophel is among the conspirators with Absalom.” And David said, “O Lord, please (AL)turn the counsel of Ahithophel into foolishness.”
32 While David was coming to the summit, where God was worshiped, behold, Hushai (AM)the Archite came to meet him (AN)with his coat torn and (AO)dirt on his head. 33 David said to him, “If you go on with me, you will be (AP)a burden to me. 34 But if you return to the city and say to Absalom, (AQ)‘I will be your servant, O king; as I have been your father's servant in time past, so now I will be your servant,’ then you will defeat for me the counsel of Ahithophel. 35 Are not Zadok and Abiathar the priests with you there? So whatever you hear from the king's house, (AR)tell it to Zadok and Abiathar the priests. 36 Behold, (AS)their two sons are with them there, Ahimaaz, Zadok's son, and Jonathan, Abiathar's son, (AT)and by them you shall send to me everything you hear.” 37 So Hushai, (AU)David's friend, came into the city, (AV)just as Absalom was entering Jerusalem.
Footnotes
- 2 Samuel 15:7 Septuagint, Syriac; Hebrew forty
- 2 Samuel 15:8 Or will serve
- 2 Samuel 15:12 Or sent
- 2 Samuel 15:20 Septuagint; Hebrew lacks may the Lord show
- 2 Samuel 15:27 Septuagint The king also said to Zadok the priest, “Look, go back
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
The ESV® Bible (The Holy Bible, English Standard Version®), © 2001 by Crossway, a publishing ministry of Good News Publishers. ESV Text Edition: 2025.
