Add parallel Print Page Options

(A)Ku buli ludda lw’ekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, n’olulala nga luyitibwa Sene. Olukonko olumu lwali ku luuyi olw’obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n’olulala nga luli ku luuyi olw’obukiikaddyo okwolekera Geba. (B)Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi y’abasajja abo abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza Mukama kulokola, ng’akozesa abangi oba abatono.

Omuvubuka n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange n’omwoyo gwange biri wamu naawe.”

Read full chapter