Add parallel Print Page Options

(A)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
    atwala emagombe ate n’azuukiza.
(B)Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;
    atoowaza ate n’agulumiza.
(C)Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;
    asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;
n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.
    Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.

Read full chapter