Add parallel Print Page Options

(A)Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. (B)Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. (C)Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

Read full chapter