Add parallel Print Page Options

(A)Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki Mukama alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya Mukama ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.”

(B)Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya Mukama Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano.

(C)Essanduuko ya Mukama ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma.

Read full chapter