Add parallel Print Page Options

(A)Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.”

(B)Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo, 10 (C)kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye.

Read full chapter