Add parallel Print Page Options

22 Dawudi n’addamu nti, “Effumu lya kabaka liirino. Tuma omu ku bavubuka bo ajje aliddukire. 23 (A)Mukama asasula buli muntu ng’obutuukirivu bwe n’obwesigwa bwe, bwe biri. Mukama yakuwaddeyo mu mukono gwange leero, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 24 (B)Nga bwe mbaliridde obulamu bwo okuba obw’omuwendo leero, kale obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, era andokole mu bizibu byonna.”

Read full chapter