Add parallel Print Page Options

20 (A)Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiyibwa wansi ewala Mukama gy’atabeera. Kabaka wa Isirayiri avuddeyo okunoonya enkukunyi, ng’omuntu bwe yandiyizze enkwale mu nsozi.”

21 (B)Awo Sawulo n’ayogera nti, “Nnyonoonye. Komawo mutabani wange Dawudi. Sigenda kuddamu kugezaako kukukolako kabi n’akamu, kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obw’omuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ng’omusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.”

22 Dawudi n’addamu nti, “Effumu lya kabaka liirino. Tuma omu ku bavubuka bo ajje aliddukire.

Read full chapter