Add parallel Print Page Options

(A)Awo Sawulo n’alumba Abamaleki okuviira ddala e Kavira okutuuka e Ssuuli, ekiri ebuvanjuba w’e Misiri. (B)N’awamba Agagi kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiririza ddala n’ekitala. (C)Era Sawulo n’eggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga n’ente, n’ennyana n’abaana b’endiga n’ebyassava, n’ebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala.

Read full chapter