Add parallel Print Page Options

Sawulo Anunula Ekibuga Yabesi

11 (A)Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni[a] n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” (B)Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.”

(C)Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe. Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese.

(D)Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. (E)N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu. (F)Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu.

Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe. 10 (G)Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.” 11 (H)Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu n’ayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lw’Abamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ez’omu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba n’omu asigala na munne.

Sawulo Akakasibwa Okuba Kabaka

12 (I)Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”

13 (J)Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero Mukama alokodde Isirayiri.” 14 (K)Awo Samwiri n’agamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.” 15 (L)Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi.

Footnotes

  1. 11:1 Abamoni baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:38; Ma 2:19). Baali baagezaako dda okulumba Isirayiri ku mirembe gy’abalamuzi (Bal 3:13; 11:4-33)

Guerra contra los amonitas

11 El amonita Najás subió y acampó frente a Jabés de Galaad. Los habitantes de Jabés le propusieron:

— Haz un pacto con nosotros y nos someteremos a ti.

Najás les respondió:

— Haré ese pacto, con la condición de sacarles a cada uno el ojo derecho. Así humillaré a todo Israel.

Los ancianos de Jabés le contestaron:

— Danos siete días de plazo para enviar mensajeros por todo el territorio de Israel y si nadie viene a ayudarnos nos rendiremos a ti.

Los mensajeros llegaron a Guibeá de Saúl, dieron la noticia al pueblo y toda la gente se puso a gritar y a llorar. Saúl volvía del campo con los bueyes y preguntó:

— ¿Qué sucede? ¿Por qué llora la gente?

Le contaron lo que habían dicho los de Jabés y, al enterarse de la noticia, Saúl, invadido por el espíritu del Señor, se enfureció, agarró la yunta de bueyes, los descuartizó y por medio de mensajeros los repartió por todo Israel con este mensaje:

— Lo mismo se hará con los bueyes de quien no siga a Saúl y a Samuel.

El temor del Señor sobrecogió al pueblo, que se alistó sin faltar uno solo. Saúl pasó revista en Bézec y había trescientos mil hombres de Israel y treinta mil de Judá. Entonces dijo a los mensajeros que habían venido:

— Digan a los de Jabés que mañana al mediodía recibirán ayuda.

Cuando los mensajeros llegaron y comunicaron la noticia, los habitantes de Jabés se llenaron de alegría 10 y dijeron a Najás:

— Mañana nos rendiremos y podrán hacer lo que mejor les parezca con nosotros.

11 Al día siguiente Saúl organizó a la gente en tres columnas; irrumpieron en el campamento antes del alba y estuvieron destrozando a los amonitas hasta el mediodía. Los supervivientes se dispersaron, de suerte que no quedaron dos juntos.

12 Entonces la gente dijo a Samuel:

— ¿Quiénes ponían en duda que Saúl sería nuestro rey? Entréguennos a esos hombres para que los matemos.

13 Pero Saúl replicó:

— Nadie debe morir en un día como este, pues hoy el Señor ha dado la victoria a Israel.

14 Luego Samuel dijo al pueblo:

— Vengan, vayamos a Guilgal. Inauguraremos allí la monarquía.

15 Todo el pueblo fue a Guilgal y proclamaron rey a Saúl ante el Señor, allí en Guilgal; ofrecieron sacrificios de comunión al Señor y después Saúl y los israelitas celebraron allí una gran fiesta.