Add parallel Print Page Options

Sawulo Anunula Ekibuga Yabesi

11 (A)Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni[a] n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” (B)Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 11:1 Abamoni baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:38; Ma 2:19). Baali baagezaako dda okulumba Isirayiri ku mirembe gy’abalamuzi (Bal 3:13; 11:4-33)