Add parallel Print Page Options

21 N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika. 22 (A)Ne beeyongera okwebuuza ku Mukama nti, “Omusajja w’ali wano, atuuse?”

Awo Mukama n’abaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.”

23 (B)Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu.

Read full chapter