Add parallel Print Page Options

Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya Mukama, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya. (A)Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”

(B)Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu[a], Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga Mukama Katonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:9 Yeekaalu eyogerwako wano ye Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu