Add parallel Print Page Options

20 (A)Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, “Kubanga namusaba Mukama Katonda.”

Kaana Awonga Samwiri

21 (B)Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe. 22 (C)Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, “Omwana bw’aliva ku mabeere[a], ndimutwala ne mulagayo eri Mukama Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:22 Abaana baavanga ku mabeere nga wayiseewo emyaka esatu oba oluusi n’okusingawo