1 Bassekabaka 3:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.
Read full chapter
Danyeri 2:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange
ompadde amagezi n’amaanyi,
ombikkulidde ekyo kye twakusabye,
otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”
Yakobo 1:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.
Read full chapter
Danyeri 2:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Mu kiro ekyo Danyeri n’afuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, n’atendereza Katonda ow’eggulu.
Read full chapter
Danyeri 2:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.
Read full chapter
Danyeri 7:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekirooto kya Danyeri eky’Ensolo Ennya
7 (A)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.
Read full chapter
Danyeri 8:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okwolesebwa kwa Danyeri okw’Endiga Ennume n’Embuzi Ennume
8 Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.