1 Abakkolinso 14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebirabo eby’Omwoyo
14 (A)Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi. 2 (B)Kubanga ayogera mu nnimi tayogera n’abantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali n’omu ategeera by’agamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo. 3 (C)Naye oyo ategeeza abantu eby’obunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era n’okubazzaamu amaanyi. 4 (D)Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera eby’obunnabbi azimba ekibiina kyonna eky’abakkiriza. 5 (E)Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere eby’obunnabbi, kubanga ayogera eby’obunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.
6 (F)Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda by’ambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba eby’obunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa. 7 Era n’ebivuga ebitalina bulamu, ng’endere oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi gategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa? 8 (G)Era singa omufuuyi w’eŋŋombe tafuuwa ddoboozi Iitegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? 9 Mu ngeri y’emu, bwe mwogera n’omuntu mu lulimi lw’atamanyi, asobola atya okutegeera kye mugamba? Muba mwogeredde bwereere. 10 Weewaawo waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era zonna zirina amakulu. 11 Naye omuntu bw’ayogera olulimi lwe simanyi, aba ng’omugwira gye ndi, nange mba ng’omugwira gy’ali. 12 Bwe mutyo nga bwe mwegomba okufuna ebirabo eby’Omwoyo, mufubenga nnyo mulyoke musobole okuzimba Ekkanisa ya Kristo.
13 Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula. 14 Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa. 15 (H)Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda n’omwoyo gwange awamu n’amagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu n’amagezi gange. 16 (I)Kubanga bw’otendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera ky’ogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ng’omaliriza okwebaza, ng’ebigambo ebyebazizza tabitegedde? 17 Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa.
18 Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna. 19 Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere n’amagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.
20 (J)Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe. 21 (K)Era kyawandiikibwa mu mateeka nti,
“Ndyogera n’abantu bano
mu nnimi endala,
n’emimwa egy’abalala,
naye era tebalimpulira,
bw’ayogera Mukama.”
22 (L)Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw’abo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. 23 (M)Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse? 24 Naye singa bonna boogera eby’obunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi n’ayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olw’ebibi bye, yeesalire omusango, 25 (N)ebyama by’omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bw’agamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
Byonna Bikolebwe mu Bulambulukufu
26 (O)Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda. 27 Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo n’avvuunula. 28 Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi w’ennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.
29 (P)Kyokka abo aboogera eby’obunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ng’abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. 30 Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga. 31 Kubanga mwenna musobola okwogera eby’obunnabbi nga mwogera mu mpalo, bonna balyoke bayige era bongerwemu amaanyi. 32 (Q)Abalina omwoyo ogw’obunnabbi bafugibwa bannabbi, 33 (R)kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.
Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna, 34 (S)abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ng’amateeka bwe gagamba. 35 Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga ba bbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa.
36 Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti mmwe be kyatuukako mwekka? 37 (T)Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu ow’omwoyo, ategeere mu bujjuvu nti bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. 38 Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.
39 (U)Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera eby’obunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza. 40 (V)Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.
哥林多前书 14
Chinese New Version (Traditional)
講道與說方言的恩賜
14 你們要追求愛,也要熱切地渴慕屬靈的恩賜,特別是先知講道的恩賜。 2 原來那說方言的不是對人說,而是對 神說,因為沒有人能聽得懂;他是在靈裡講奧祕的事。 3 但那講道的是對人講說,使他們得著造就、安慰和勸勉。 4 那說方言的是造就自己,但那講道的是造就教會。 5 我願意你們都說方言,但我更願意你們都講道;因為那說方言的,如果不翻譯出來使教會得著造就,就遠不如那講道的了。
6 弟兄們,你們想想,如果我到你們那裡去,只說方言,不向你們講有關啟示、知識、預言,或教訓的話,那我對你們有甚麼益處呢? 7 甚至那些沒有生命卻能發聲的東西,例如簫或琴,如果音調不分,怎能使人知道所彈所奏的是甚麼呢? 8 又如果軍號所發的聲音不清楚,誰會準備作戰呢? 9 你們也是這樣,如果用舌頭發出人聽不懂的話來,人怎會知道你所講的是甚麼呢?這樣,你們就是向空氣說話了。 10 世上有那麼多種語言,但沒有一種是沒有意義的。 11 我若不明白某一種語言的意思,在那講的人來看,我就是個外國人;在我來說,那講話的人也是個外國人。 12 你們也是這樣,你們既然熱切地渴慕屬靈的恩賜,就應當追求多多得著造就教會的恩賜。 13 所以,說方言的應當祈求,使他能把方言翻譯出來。 14 我若用方言禱告,是我的靈在禱告,我的理智並沒有作用。 15 那麼我應當怎樣行呢?我要用靈禱告,也要用理智禱告;我要用靈歌唱,也要用理智歌唱。 16 不然,如果你用靈讚美,在場那些不明白的人,因為不知道你在說甚麼,怎能在你感謝的時候說“阿們”呢? 17 你感謝固然是好,但別人卻得不著造就。 18 我感謝 神,我說方言比你們大家都多。 19 但在教會中,我寧願用理智說五句話去教導人,勝過用方言說萬句話。
20 弟兄們,你們在思想上不要作小孩子,卻要在惡事上作嬰孩,在思想上作成年人。 21 律法上記著說:“主說:
我要藉著說別種話的人,
用外國人的嘴唇,
對這人民說話;
雖然這樣,他們還是不聽我。”
22 可見說方言不是要給信主的人作記號,而是要給未信的人;講道不是要給未信的人,而是要給信主的人作記號。 23 所以,如果全教會聚在一起的時候,大家都說方言,有不明白的人或未信的人進來,不是要說你們瘋了嗎? 24 如果大家都講道,有未信的人或不明白的人進來,他就會被眾人勸服而知罪,被眾人審問了。 25 他心裡隱祕的事被顯露出來,他就必俯伏敬拜 神,宣告說:“ 神真的是在你們中間了。”
神不是混亂而是和平的
26 弟兄們,那麼應該怎麼辦呢?你們聚集在一起的時候,各人或有詩歌,或有教訓,或有啟示,或有方言,或有翻譯出來的話,一切都應該能造就人。 27 如果有人說方言,只可以有兩個人,或最多三個人,並且要輪流說,同時要有一個人翻譯。 28 如果沒有人翻譯,他就應當在會中閉口,只對自己和對 神說好了。 29 講道的,也只可以兩三個人講,其餘的人要衡量他們所講的。 30 在座的有人得了啟示,那先講的人就應當住口。 31 因為你們都可以輪流講道,好讓大家都可以學習,都可以得到勉勵。 32 先知的靈是受先知控制的, 33 因為 神不是混亂的,而是和平的。 34 婦女在聚會中應當閉口,好像在聖徒的眾教會中一樣,因為她們是不准講話的;就如律法所說的,她們應該順服。 35 如果她們想要學甚麼,可以在家裡問自己的丈夫,因為婦女在聚會中講話原是可恥的。 36 難道 神的道是從你們出來的嗎?是單單臨到你們的嗎?
37 如果有人自以為是先知或是屬靈的,他就應該知道我寫給你們的是主的命令; 38 如果有人不理會,別人也不必理會他。 39 所以我的弟兄們,你們要熱切地追求講道的恩賜,也不要禁止說方言。 40 凡事都要規規矩矩地按著次序行。
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Chinese New Version (CNV). Copyright © 1976, 1992, 1999, 2001, 2005 by Worldwide Bible Society.
