Add parallel Print Page Options

Omusumba Omulungi

10 “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. (A)Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga. (B)Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru. Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” (C)Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.

Read full chapter

27 (A)Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.

Read full chapter