历代志上 12
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
投奔大卫的人
12 大卫在洗革拉躲避基士的儿子扫罗的时候,有些勇士来投奔他,帮助他作战。 2 他们是弓箭手,左右手都能甩石射箭,来自便雅悯支派,与扫罗同族。 3 他们的首领是亚希以谢,其次是约阿施,都是基比亚人示玛的儿子,还有亚斯玛威的儿子耶薛和毗力,以及比拉迦、亚拿突人耶户, 4 统领三十位勇士的杰出战士基遍人以实买雅,另有耶利米、雅哈悉、约哈难、基得拉人约撒拔、 5 伊利乌赛、耶利摩、比亚利雅、示玛利雅、哈律弗人示法提雅、 6 可拉人以利加拿、耶西亚、亚萨列、约以谢、雅朔班、 7 基多人耶罗罕的儿子犹拉和西巴第雅。
8 有些迦得支派的人到旷野的堡垒投奔大卫,他们作战英勇,善用盾和矛,貌似雄狮,快如山鹿。 9 他们为首的是以薛,其次是俄巴底雅,第三是以利押, 10 第四是弥施玛拿,第五是耶利米, 11 第六是亚太,第七是以利业, 12 第八是约哈难,第九是以利萨巴, 13 第十是耶利米,第十一是末巴奈。 14 他们都是迦得支派的将领,级别最低的统领一百人,最高的统领一千人。 15 一月,约旦河水涨过两岸的时候,他们渡到河对岸,把住在平原的人打得东奔西逃。
16 便雅悯支派和犹大支派中也有人到堡垒投奔大卫, 17 大卫出去迎接他们,说:“如果你们是好心来帮助我的,我就与你们结盟,但如果你们把我这无罪之人出卖给敌人,愿我们祖先的上帝鉴察、惩罚你们。” 18 当时,上帝的灵感动那三十位勇士的首领亚玛撒,他就说:
“大卫啊,我们是你的人!
耶西的儿子啊,我们拥护你!
愿你无比昌盛!
愿帮助你的人也都昌盛!
因为你的上帝帮助你。”
大卫便收留他们,派他们统领他的队伍。
19 从前,大卫和非利士人一同去攻打扫罗的时候,有些玛拿西人来投奔大卫。但大卫及其部下没有帮助非利士人作战,因为非利士人的首领商议后,害怕大卫拿着非利士人的头颅去归顺他的主人扫罗,便让他们走了。 20 大卫回洗革拉的时候,玛拿西支派的千夫长押拿、约撒拔、耶叠、米迦勒、约撒拔、以利户、洗勒太都来投奔他。 21 他们都是将领,作战英勇,帮助大卫抗击匪徒。 22 那时天天有人来投奔大卫,以致形成一支大军,好像上帝的军队。
23 有些全副武装的士兵也到希伯仑投奔大卫,要把扫罗的国权交给大卫,正如耶和华的应许。以下是这些人的数目: 24 从犹大支派来了手持盾牌和长矛的六千八百名战士; 25 从西缅支派来了七千一百名英勇的战士; 26 从利未支派来了四千六百人; 27 亚伦家族中的首领耶何耶大和他的三千七百个随从; 28 年轻、英勇的撒督和他家族的二十二个将领; 29 扫罗的亲族、便雅悯支派中有三千人,大部分便雅悯人仍然效忠扫罗家; 30 来自以法莲支派、在本族中有名望的两万零八百个英勇的战士; 31 来自玛拿西半个支派、被点名选出来拥立大卫做王的一万八千人; 32 来自以萨迦支派、洞悉时事且深明以色列当行之道、统领族人的二百位族长; 33 来自西布伦支派、能征善战、拥有各种兵器、训练有素、忠心耿耿的五万人; 34 来自拿弗他利支派的一千名将领和三万七千名手持盾牌和长矛的随从; 35 来自但支派的两万八千六百名训练有素的人; 36 来自亚设支派的四万名训练有素的战士; 37 来自约旦河东边的吕便支派、迦得支派和玛拿西半个支派的十二万拥有各种兵器的人。
38 以上这些人都是能征善战的勇士,他们诚心诚意地到希伯仑拥立大卫做以色列王,其余的以色列人也都万众一心地要立大卫做王。 39 他们在那里与大卫一起吃喝了三天,因为他们的亲族为他们预备了食物。 40 他们周围的人,远至以萨迦、西布伦和拿弗他利支派的人,都用驴、骆驼、骡子和牛驮来面饼、无花果饼、葡萄干、酒和油,又牵来许多牛和羊,以色列境内充满了欢乐。
1 Ebyomumirembe 12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abawagizi ba Dawudi
12 (A)Bano be basajja abajja eri Dawudi e Zikulagi, gye yali yeekwese Sawulo mutabani wa Kiisi, era be bamu ku bamuyamba mu lutalo. 2 (B)Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, n’okuvuumuula nga bavuumuula amayinja n’emikono gyabwe egya ddyo n’egya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo ow’ekika kya Benyamini.
3 Akiyezeeri ye yali omukulu, muganda we Yowaasi n’amuddirira, bombi nga batabani ba Semaa Omugibeya;
Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi;
Beraka, ne Yeeku Omwanasoni, 4 (C)ne Isumaya Omugibyoni, omusajja omuzira ku bali amakumi asatu, era omukulu waabwe;
ne Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanaani, ne Yozabadi Omugederi; 5 ne Eruzayi, ne Yerimosi, ne Beyaliya, ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu;
6 ne Erukaana, ne Issiya, ne Azaleri, ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu, Abakoola;
7 (D)ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba yerokamu ow’e Gedoli.
8 (E)Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja b’amaanyi abazira nga balina amafumu n’engabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga ag’empologoma, era nga bawenyuka emisinde ng’empeewo mu nsozi.
9 Ezeri ye yali omukulu waabwe,
ne Obadiya n’amuddirira, ne Eriyaabu nga ye wookusatu,
10 ne Misumanna nga ye wookuna, ne Yeremiya nga ye wookutaano,
11 ne Attayi nga ye w’omukaaga, ne Eryeri nga ye w’omusanvu,
12 ne Yokanaani nga ye wa munaana, ne Eruzabadi nga ye wa mwenda,
13 ne Yeremiya nga ye wa kkumi, ne Makubannayi nga ye wa kkumi n’omu.
14 (F)Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ng’aduumira ekibinja eky’abantu lukumi. 15 (G)Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogw’olubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba.
16 (H)Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye. 17 Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.”
18 (I)Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti,
“Ffe tuli babo, Dawudi!
Tuli naawe, Omwana wa Yese!
Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli;
era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba,
kubanga Katonda wo ajja kukubeera.”
Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye.
19 (J)Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.” 20 (K)Dawudi bwe yali ng’agenda e Zikulagi, abasajja ab’ekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, n’abakungu abaakuliranga ebibinja eby’olukumi mu Manase. 21 Baayamba nnyo Dawudi okulwana n’ebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye. 22 Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era n’okwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, ery’amaanyi.
Abasajja Abeegatta ku Dawudi e Kebbulooni
23 (L)Guno gwe muwendo gw’abasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali:
24 abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo n’effumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana;
25 abasajja ba Simyoni, baali kasanvu mu kikumi;
26 abasajja ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga; 27 ng’omwo mwe muli Yekoyaada omukulu w’ennyumba ya Alooni n’abasajja enkumi ssatu mu lusanvu; 28 (M)ne Zadooki omuvubuka omulwanyi era omuzira, n’abakungu okuva mu nnyumba ye amakumi abiri mu babiri.
29 (N)Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo;
30 abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ng’era batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana;
31 abasajja ku kitundu eky’ekika kya Manase, abaayatulwa erinnya okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana;
32 (O)abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, n’ab’eŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga;
33 abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu by’entalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi n’omutima gumu baali emitwalo etaano;
34 abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, n’abasajja abaakwatanga engabo n’amafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu;
35 abasajja aba Ddaani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga;
36 abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena;
37 emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi n’ebiri.
38 (P)Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe.
Ne bajja e Kebbulooni okuweereza n’okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna. 39 (Q)Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo ab’eŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde. 40 (R)Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.