士师记 13
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
参孙的出生
13 以色列人又做耶和华视为恶的事,耶和华就把他们交在非利士人手中四十年。
2 琐拉城住了一个但支派的人,名叫玛挪亚。他妻子不能生养,没有孩子。 3 耶和华的天使向那妇人显现,对她说:“你虽然多年不育,但不久你必怀孕生一个儿子。 4 所以,你要留心,不可喝淡酒和烈酒,不可吃不洁之物。 5 你必怀孕生一个儿子,你不可为他剃头,因为他一出生就要归给上帝做拿细耳人[a]。他要从非利士人手中拯救以色列人。” 6 妇人就去对丈夫说:“有一位上帝的仆人向我显现,他的容貌像上帝的天使,非常可畏。我没有问他从哪里来,他也没有把名字告诉我。 7 他对我说,‘你必怀孕生一个儿子,所以不可喝淡酒和烈酒,不可吃不洁之物,因为孩子一出生就要献给耶和华,终生做拿细耳人。’”
8 玛挪亚向耶和华祈求说:“主啊,求你再派你的仆人到这里来,教我们怎样照顾要出生的孩子。” 9 上帝应允了他的祈求。他妻子正坐在田间的时候,上帝的天使再次向她显现。当时她丈夫玛挪亚不在场。 10 她赶忙跑去告诉她丈夫说:“那天来的那人又向我显现了。” 11 玛挪亚立刻跟随妻子来到那人面前,问他:“那天跟我妻子说话的就是你吗?”他答道:“是我。” 12 玛挪亚问道:“你的话应验以后,我们应该怎样抚养这孩子?他该做什么?” 13 耶和华的天使说:“你的妻子必须谨记我的一切吩咐。 14 她不可吃葡萄树所结的果实,淡酒和烈酒都不可喝,不可吃任何不洁之物。她必须遵行我的一切吩咐。”
15 玛挪亚说:“请你留下来,我们要预备一只山羊羔给你吃。” 16 当时,玛挪亚仍然不知道那人是耶和华的天使。天使说:“我就是留下来也不会吃你预备的食物。如果你预备燔祭,就把它献给耶和华吧!” 17 玛挪亚说:“请告诉我你的名字,当一切应验的时候,我们好向你表达敬意。” 18 耶和华的天使说:“何必问我的名字呢?我的名字奇妙难测。” 19 于是,玛挪亚就把一只山羊羔和素祭放在磐石上,献给耶和华。就在这时候,天使在玛挪亚和他妻子面前行了一件奇妙的事: 20 火焰从祭坛上升起的时候,耶和华的天使也在祭坛的火焰中升上去了。玛挪亚夫妇见状,便俯伏在地。
21 耶和华的天使后来没再向玛挪亚和他妻子显现,玛挪亚才知道他是耶和华的天使。 22 玛挪亚对妻子说:“我们必死无疑,因为我们看见了上帝。” 23 他妻子却说:“如果耶和华要杀我们,祂就不会接受我们的燔祭和素祭了,也不会让我们看见这些事并告诉我们这些话了。”
24 后来玛挪亚的妻子生了个儿子,她给孩子取名叫参孙。这孩子渐渐长大,耶和华赐福给他。 25 当他在琐拉和以实陶之间的玛哈尼·但的时候,耶和华的灵开始感动他。
Balam 13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuzaalibwa kwa Samusooni
13 (A)Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama Katonda kyeyava abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka amakumi ana. 2 (B)Ne wabaawo omusajja ow’e Zola, ow’omu kika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa, eyalina mukazi we nga mugumba. 3 (C)Malayika wa Mukama Katonda n’alabikira omukazi n’amugamba nti, “Laba, kaakano, oli mugumba era atazaalanga ku mwana, naye oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi. 4 (D)Laba nga tonywa envinnyo, newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. 5 (E)Kubanga, laba, oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
6 (F)Awo omukazi n’agenda n’ategeeza bba, ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gy’avudde, ate era naye tambulidde linnya lye. 7 Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga envinnyo newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era bw’atyo bw’aliba ennaku ez’obulamu bwe zonna.’ ”
8 Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Ayi Mukama, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.” 9 Katonda n’awulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda n’akomawo eri omukazi, n’amusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye. 10 Awo omukazi n’ayanguwa n’adduka n’ategeeza bba ng’agamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”
11 Manowa n’agolokoka n’agoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja n’amugamba nti, “Ggwe musajja eyayogera eri mukazi wange?” Malayika n’amuddamu nti, “Ye nze.” 12 Manowa n’amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, biragiro ki bye tuligoberera nga tukuza omulenzi?” 13 Malayika wa Mukama Katonda n’addamu Manowa nti, “Ebyo byonna bye nagamba mukazi wo ateekwa okubikola. 14 (G)Mukazi wo tateekwa kulya kibala ekiva mu zabbibu, newaakubadde okunywa envinnyo, newaakubadde okunywa ekitamiiza, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Ateekwa okukola buli kintu kye namulagira.” 15 (H)Awo Manowa n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Sigala wano naffe, tukuteekereteekere akabuzi akato.” 16 (I)Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama. 17 (J)Awo Manowa n’abuuza malayika wa Mukama Katonda nti, “Erinnya lyo ggwe ani, ekigambo ky’oyogedde bwe kirituukirira tulyoke tukuseemu ekitiibwa?”
18 (K)Malayika wa Mukama Katonda n’amuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.” 19 (L)Awo Manowa n’addira akabuzi akato, n’ekiweebwayo eky’empeke, n’abiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Ne wabaawo eky’ekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba. 20 (M)Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda n’akkira mu muliro gw’ekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ng’obwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka. 21 (N)Malayika wa Mukama bw’ataddayo kweraga gye bali, Manowa ne mukazi we ne bategeera ng’abadde malayika wa Mukama Katonda.
22 (O)Manowa n’agamba mukazi we nti, “Tugenda kufa kubanga tulabye Katonda.” 23 (P)Naye mukazi we n’amugamba nti, “Singa Mukama Katonda yabadde wa kututta, teyandisiimye kiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’empeke okuva gye tuli, newaakubadde okutulaga ebintu bino byonna, wadde okututegeeza kino.”
24 (Q)Awo omukazi n’azaala omwana wabulenzi, n’amutuuma Samusooni. Omwana n’akula, Mukama Katonda n’amuwa omukisa. 25 (R)Omwoyo wa Mukama Katonda n’atandika okukolera mu Samusooni ng’ali mu Makanedani ekiri wakati w’e Zola ne Esutaoli.
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.