Add parallel Print Page Options

Ebirala Sulemaani bye yakola

Bwe wayitawo emyaka amakumi abiri, mu myaka Sulemaani gye yazimbiramu eyeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, Sulemaani n’addaabiriza ebibuga Kulamu bye yali amuwadde, n’abiwa Abayisirayiri okubibeerangamu. Sulemaani n’alumba Kamasuzoba n’akiwamba. Era n’azimba ne Tadumoli mu ddungu, n’ebibuga byonna, eby’etterekero mu Kamasi. (A)N’addaabiriza Besukolooni ekya waggulu ne Besukolooni ekya wansi, n’abizimba nga bibuga ebiriko bbugwe, n’enkomera, ne wankaaki, n’ebisiba eby’empagi, n’ekya Baalasi n’ebibuga bye byonna eby’amaterekero, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge, n’abavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga.

(B)Abantu bonna abaalekebwawo ku Bakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, nga bano be bataali Bayisirayiri, (C)be bazzukulu abaasigalawo, Abayisirayiri be bataazikiriza, Sulemaani n’abafuula abaddu, ne leero. Naye Sulemaani n’atafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, n’abaduumizi b’eggye lye, n’abaduumizi ab’amagaali ge n’abeebagala embalaasi ze. 10 Waaliwo n’abakungu ba kabaka Sulemaani ab’oku ntikko, ebikumi bibiri mu ataano, abaafuganga abantu.

11 (D)Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi n’amutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ng’agamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama by’etuusemu bitukuvu.”

12 (E)Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso ag’olubalaza, 13 (F)nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira. 14 (G)N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. 15 Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo.

16 Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era n’emalibwa bulungi.

17 Awo Sulemaani n’agenda e Eziyonigeba n’e Erosi ebibuga ebyali ku lubalama lw’ennyanja mu nsi ya Edomu. 18 (H)Kulamu n’amuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri n’abaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu.

所罗门其他建树与功绩(A)

所罗门建造耶和华的殿和自己的王宫,用了二十年才完成。 所罗门又修筑希兰送给他的那些城市,使以色列人住在那里。 所罗门到哈玛琐巴去,占领了那地方。 所罗门又修筑了在旷野的达莫,和他在哈玛建造的一切贮藏货物的城市。 他又建造上伯.和仑和下伯.和仑,成了有墙、有门和有闩的设防城; 又建造巴拉和所罗门拥有的一切贮藏货物的城市,以及一切囤放战车的城市,马兵驻扎的城市,和所罗门在耶路撒冷、黎巴嫩,以及他统治的全境内喜爱建造的一切。

至于以色列人以外的赫人、亚摩利人、比利洗人、希未人和耶布斯人剩下来的人民, 他们的子孙仍然留在那地,以色列人没有消灭他们。于是,所罗门征召他们作苦工,直到今日。 唯独以色列人,所罗门没有驱使他们为他的工程作奴仆;他们作了他的战士、军长、车兵长和马兵长。 10 所罗门王有二百五十名监工,监督工人。

11 所罗门把法老的女儿从大卫城,带到他为她建造的宫里去;因为他说:“我的妻子不可住在以色列王大卫的宫里,因为耶和华的约柜所到的地方都是神圣的。”

12 那时,所罗门在耶和华的坛上,就是在走廊前面他建筑的坛上,向耶和华献上燔祭, 13 又照着摩西的吩咐,在安息日、初一和一年三次特定的节期,就是除酵节、七七节、住棚节,献上每日当献的。

14 所罗门又照着他父亲大卫所定的,设立了祭司的班次,执行他们的事奉,又派遣利未人,各守本职,赞美耶和华,在祭司面前照着每日的本分事奉。又派守门的按着班次看守各门。因为这是神人大卫的吩咐。 15 王对祭司和利未人所吩咐的,无论是甚么事务,或是有关库房的事,他们都没有违抗。

16 从耶和华的殿奠基的日子起,直到建成,所罗门的一切工程都进行顺利。这样,耶和华的殿就完成了。

17 那时,所罗门往以东地,到靠近海边的以旬.迦别和以禄去了。 18 希兰派他的臣仆,把船只和熟悉航海的仆人,送到所罗门那里。他们和所罗门的仆人一同去到俄斐,从那里得了一万五千公斤金子,运到所罗门王那里。

所羅門的功績

所羅門用二十年的時間興建了耶和華的殿和他自己的王宮。 他重修希蘭送給他的城邑,讓以色列人居住。

所羅門去攻打哈馬瑣巴,並攻取了此城。 他興建曠野裡的達莫以及哈馬境內所有的儲貨城, 把上伯·和崙與下伯·和崙建成有牆、有門、有閂的堅城, 還建造巴拉、所有的儲貨城、屯車城、養馬城和他想在耶路撒冷、黎巴嫩及其統治的全境興建的城邑。 當時國中有赫人、亞摩利人、比利洗人、希未人和耶布斯人的後裔, 以色列人沒有滅絕他們。所羅門讓他們服勞役,至今如此。 所羅門王沒有讓以色列人服勞役,而是讓他們做戰士、將領、戰車長和騎兵長。 10 他還任命二百五十名監工負責監管工人。

11 所羅門帶法老的女兒離開大衛城,來到為她建造的宮中,因為所羅門說:「我的妻子不可住在以色列王大衛的宮裡,因為約櫃所到之處都是聖潔的。」

12 所羅門在門廊前他所築的耶和華的壇上向耶和華獻燔祭, 13 並照摩西的規定,在安息日、朔日和每年特定的三個節期,即除酵節、七七節和住棚節獻上當獻的祭。

14 所羅門照著他父親大衛的吩咐,指派祭司分班供職,讓利未人負責頌讚、輔助祭司盡每天的職責,還指派殿門守衛分班守門。這些都是上帝的僕人大衛規定的。 15 他們沒有違背大衛王就庫房等工作對祭司和利未人的吩咐。

16 從耶和華的殿奠基直到完工,所羅門所有的計劃都已順利完成。這樣,耶和華的殿落成了。

17 之後,所羅門前往以東地區靠海的以旬·迦別和以祿。 18 希蘭派懂得航海的僕人乘船隻與所羅門的僕人一同到俄斐,從那裡為所羅門王運回十五噸黃金。