历代志下 5
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
5 这样,所罗门完成了耶和华殿的一切工作。所罗门把他父亲大卫献给上帝的金银和一切器具都搬进上帝殿的库房。
运约柜入圣殿
2 所罗门把以色列的长老、各支派的首领和族长召集到耶路撒冷,准备把耶和华的约柜从大卫城锡安运上来。 3 在七月住棚节的时候,以色列人都聚集到所罗门王那里。 4 以色列的长老到齐后,祭司便抬起约柜, 5 祭司和利未人将约柜、会幕和会幕里的一切圣器运上来。 6 所罗门王和聚集到他那里的以色列全体会众在约柜前献祭,献上的牛羊多得不可胜数。 7 祭司把耶和华的约柜抬进内殿,即至圣所,放在两个基路伯天使的翅膀下面。 8 基路伯天使展开翅膀,遮盖约柜和抬约柜的横杠。 9 横杠非常长,在至圣所前面的圣所中也看得见横杠的末端,但在圣所外面看不见。横杠至今仍在那里。 10 约柜里除了两块石版,没有别的东西。石版是以色列人离开埃及后,耶和华在何烈山跟他们立约时,摩西放进去的。
耶和华的荣耀
11 随后,祭司退出圣所,所有在场的祭司不分班次都已洁净自己。 12 所有负责歌乐的利未人亚萨、希幔、耶杜顿,以及他们的儿子和亲族都穿着细麻布衣服,站在祭坛的东边,敲钹、鼓瑟、弹琴,同时还有一百二十位祭司吹号。 13 吹号的和歌乐手一起同声赞美和称谢耶和华,伴随着号、钹及各种乐器的声音,高声赞美耶和华:
“祂是美善的,
祂的慈爱永远长存!”
那时,有云彩充满了耶和华的殿, 14 以致祭司不能在殿里供职,因为殿里充满了耶和华上帝的荣光。
2 Ebyomumirembe 5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. N’alyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna ebyole, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda.
Essanduuko Ereetebwa mu Yeekaalu
2 (B)Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika, n’abakulu b’ennyumba za bajjajja b’abantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi. 3 (C)Abasajja bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu.
4 Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, Abaleevi ne basitula essanduuko, 5 (D)ne bagireeta, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi be baabisitula.
6 Awo kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez’endiga n’ente, ezitaabalibwa muwendo.
7 (E)Awo bakabona ne baleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. 8 (F)Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo eky’essanduuko, ne babikkanga essanduuko n’emisituliro gyayo. 9 Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga n’okulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ng’omuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero. 10 (G)Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano n’Abayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri.
11 (H)Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe. 12 (I)Abaleevi bonna abaali abayimbi, ng’omwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, ne bayimirira ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’ekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere. 13 (J)Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti,
“Mulungi,
kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”
Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire. 14 (K)Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.