建造圣殿

所罗门在耶路撒冷的摩利亚山上动工兴建耶和华的殿,殿址在耶布斯人阿珥楠的麦场,就是大卫指定的地方。耶和华曾在那里向他父亲大卫显现。 所罗门在执政第四年二月二日动工建殿。 按照古时的尺度,他建造的上帝殿宇的地基长二十七米,宽九米。 殿前的门廊长九米,与殿的宽度一样,高九米[a],里面都贴上纯金。 大殿里镶上松木板,贴上纯金,又刻上棕树和链子。 所罗门用宝石和巴瓦音的纯金装饰殿。 殿的栋梁、墙壁、门槛和门扇也都贴上金子;墙上还刻上基路伯天使。

所罗门又动工建造至圣所,长九米,宽九米,与殿的宽度一样,里面共贴了二十一吨纯金。 所用的金钉重六百克。楼房也都贴上了金子。 10 他又在至圣所制造两个基路伯天使的翅膀,包上金子。 11-13 两个基路伯天使的翅膀共九米长,每个翅膀长二点二五米。两个基路伯天使面向大殿站立,他们展开的翅膀共九米长,各有一个翅膀触到殿墙,一个翅膀互相连接。 14 他用蓝色、紫色和朱红色的线以及细麻织成幔子,并在上面绣上基路伯天使。

15 所罗门在殿前造了两根柱子,每根高八米,上面的柱冠高二点二五米。 16 他也造了链子[b],装饰在柱冠上。他又造了一百个石榴,安在链子上。 17 这两根柱子一左一右立在殿的入口处,他给右边那根取名叫雅斤,给左边那根取名叫波阿斯。

Footnotes

  1. 3:4 高九米”希伯来文是“高五十四米”。
  2. 3:16 他也造了链子”希伯来文是“他在圣所内造了链子”。

Sulemaani Azimba Yeekaalu

(A)Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. (B)Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe.

(C)Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda. Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu. (D)Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu. N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu. (E)Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge.

(F)N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu. (G)Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.

10 (H)Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu. 11 Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala. 12 N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala. 13 (I)Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye. 14 (J)N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi.

15 (K)Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu. 16 (L)N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo. 17 N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini[a], n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi[b].

Footnotes

  1. 3:17 Yakini amakulu nti yeeteekawo
  2. 3:17 Bowaazi amakulu nti mu ye mwe muli amaanyi