Add parallel Print Page Options

Ebibinja eby’Eggye

27 Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

(A)Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka

(B)Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo.

(C)Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.

(D)Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

(E)Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

(F)Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

10 (G)Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

11 (H)Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

12 (I)Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

13 (J)Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

14 (K)Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

15 (L)Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

Abataka ab’Ebika

16 Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali:

eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli;

eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka;

17 (M)eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri;

eyafuganga Alooni yali Zadooki;

18 eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi;

eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri;

19 eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya;

eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri;

20 eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya;

eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya;

21 eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya;

eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri;

22 n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu.

Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri.

23 (N)Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu. 24 (O)Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.

Abalabirizi ba Kabaka

25 Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka,

ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.

26 Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro.

27 Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu,

ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge.

28 (P)Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba;

ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta.

29 Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni,

ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.

30 Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira,

ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi.

31 (Q)Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga.

Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.

32 Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi,

ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira.

33 (R)Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka,

ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.

34 (S)Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi.

Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.

以色列的軍事組織

27 以色列人各家族的首領、千夫長、百夫長和服事王的所有官長,都按著他們的數目分定班次,每年按月輪班,每班有二萬四千人。 負責正月第一班的,是撒巴第業的兒子雅朔班,他那一班有二萬四千人。 他是法勒斯子孫中的首領,統管正月那一班所有的軍長。 負責二月那一班的是亞哈希人朵代,他那一班還有副官密基羅,他那一班有二萬四千人。 三月第三班的軍長是大祭司耶何耶大的兒子比拿雅,他那一班有二萬四千人。 這比拿雅是那三十位勇士中的一位,管理那三十人;他那一班還有他的兒子暗米薩拔。 四月第四班的軍長是約押的兄弟亞撒黑,接續他的是他的兒子西巴第雅;他那一班有二萬四千人。 五月第五班的軍長是伊斯拉人珊合,他那一班有二萬四千人。 六月第六班的軍長是提哥亞人益吉的兒子以拉,他那一班有二萬四千人。 10 七月第七班的軍長是以法蓮子孫中比倫人希利斯,他那一班有二萬四千人。 11 八月第八班的軍長是謝拉家族戶沙人西比該,他那一班有二萬四千人。 12 九月第九班的軍長是便雅憫支派亞拿突人亞比以謝,他那一班有二萬四千人。 13 十月第十班的軍長是謝拉家族尼陀法人瑪哈萊,他那一班有二萬四千人。 14 十一月第十一班的軍長是以法蓮子孫中的比拉頓人比拿雅,他那一班有二萬四千人。 15 十二月第十二班的軍長是俄陀聶家族尼陀法人黑玳,他那一班有二萬四千人。

以色列各支派的領袖

16 掌管以色列各支派的記在下面:流本支派的首領是細基利的兒子以利以謝;西緬支派的首領是瑪迦的兒子示法提雅; 17 利未支派的首領是基母利的兒子哈沙比雅;亞倫子孫的首領是撒督; 18 猶大支派的首領是大衛的哥哥以利戶;以薩迦支派的首領是米迦勒的兒子暗利; 19 西布倫支派的首領是俄巴第雅的兒子伊施瑪雅;拿弗他利支派的首領是亞斯列的兒子耶利摩; 20 以法蓮支派的首領是阿撒細雅的兒子何細亞;瑪拿西半個支派的首領是毘大雅的兒子約珥; 21 基列地瑪拿西那半個支派的首領是撒迦利亞的兒子易多;便雅憫支派的首領是押尼珥的兒子雅西業; 22 但支派的首領是耶羅罕的兒子亞薩列。以上這些人是以色列各支派的領袖。 23 以色列人二十歲以下的,大衛都沒有登記他們的數目,因為耶和華曾經說過要增添以色列人的數目,好像天上的星那樣多。 24 洗魯雅的兒子約押開始數點,但還沒有完成,為了這事耶和華的忿怒就臨到以色列人身上,所以以色列的人數沒有記在大衛王的年錄上。

王室財政與產業的主管

25 管理王的庫房的,是亞疊的兒子押斯馬威;管理郊野、城市、鄉村和望樓的倉庫的,是烏西雅的兒子約拿單; 26 管理耕田種地的,是基綠的兒子以斯利; 27 管理葡萄園的,是拉瑪人示每;管理園裡酒庫的,是實弗米人撒巴底; 28 管理高原橄欖樹和桑樹的,是基第利人巴力.哈南;管理油庫的,是約阿施; 29 管理在沙崙牧放的牛群的,是沙崙人施提賚;管理在山谷的牛群的,是亞第賚的兒子沙法; 30 管理駱駝的,是以實瑪利人阿比勒;管理驢群的,是米崙人耶希底亞; 31 管理羊群的,是夏甲人雅悉。以上這些人都是給大衛王管理產業的官員。

大衛的重要臣僕

32 大衛的叔父約拿單是一個謀士;這人很有智慧,又是一個經學家;哈摩尼的兒子耶歇是王眾子的老師。 33 亞希多弗也是王的謀士;亞基人戶篩是王的朋友; 34 亞希多弗以後,有比拿雅的兒子耶何耶大和亞比亞他,接續他作謀士;約押作王的元帥。